A.JJEB.S6 Luganda 1

Download as pdf or txt
Download as pdf or txt
You are on page 1of 4

P360/1

LUGANDA
Paper 1
AUGUST, 2022
2½ Hours

JINJA JOINT EXAMINATIONS BOARD


Uganda Advanced Certificate of Education
MOCK EXAMINATIONS – AUGUST, 2022

LUGANDA P360/1
Olupapula olusooka
(Amateeka N’enkozesa y’Olulimi, Obuwangwa n’Abawandiisi)
Essaawa: Bbiri n’ekitundu

Ebiragiro:

 Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bisatu A, B ne C.


 Ekitundu A kya buwaze.
 Mu kitundu B kola nnamba 2, 3 ne 4. Oweereddwa ebyokulondako by’oyagala
okuddamu.
 Mu kitundu C ggyamu ekibuuzo kimu (1) ng’okironda ku bikuweereddwa.

1
@2022 Jinja Joint Examinations Board Bikkula
EKITUNDU A
Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu kino.
1. (a) Longoosa ensobi ezikoleddwa mu mpandiika mu sentensi ezikuweereddwa wamanga
(i) Tunanaabira wa?
(ii) Lwaki lunkuse akaaba?
(iii) Ennaanansi gisse kummeeza.
(iv) Londa gw’oyagala mwabo.
(v) Ffena gwalidde. (Obubonero 05)
(b) Wa ekigambo kimu ekitegeeza ebyo ebisaziddwako.
(i) Oyo gw’olaba akankana yakwata ku mu koddomi we n’alwala obulwadde obwo.
(ii) Kasule yagenze okuwasa Nalukenge nga teyegattangako na muwala yenna.
(iii) Maama atufumbidde ebigere by’ente ne tuwoomerwa.
(iv) Atuwadde omubisi gwasogodde nga tataddeemu mazzi. (Obubonero 08)

(c) Laga ennyingo y’erinnya ku kikolwa ekozesebwa ku buli linnya erikuweereddwa.


(i) Omuwogo
(ii) Balugu
(iii) Eddigobe (Obubonero 3)

(d) Ddamu owandiike sentensi ezikuweereddwa ng’ebikolwa ebirimu obifudde ebisoboka.


(i) Tulya Lumonde
(ii) Basiiga bifaananyi (Obubonero 04)

(e) Jjuza mu mabanga agalekeddwa mu sentensi ezikuweereddwa n’ebyokuddamu ebituufu.


(nakalazi)
(i) Omwana olwakula n’amutwala ……………………… ssomero asome.
(ii) Yannengeza …………………….. we battira omubbi. (Obubonero 04)

(f) Wandiika emiwendo okuva mu bigambo ebikuweeredwa.


(i) Emitwalo munaana mu kakaaga mu bina mu asatu mu nnya.
(ii) Akakadde kamu mu emitwalo esau mu lukumi mu bina mu kkumi. (Obubonero 04)

(g) Amabanga agalekeddwawo wammanga mu sentensi gajjuzeemu nga weesigama ku


bikuweereddwa mu bukomera.
(i) Baaba asusa bijanjaalo ……………………..(sentensi gizze mu kiseera ekyayise)
(ii) Ssentebe yaggalawo olukiiko …………………….(Amannya agali mu sentensi ddamu
ogawandiike ng’ogasikizza nakasigirwa)
(iii) Emmere esiridde ……………………….. (Ddamu owandiike sentensi ng’okozesa
nakasiba)
(iv) Akaserengeto ………………………….(Wa olubu lw’erinnya) (Obubonero 8)

(h) Wa ekigambo kimu ekirina amakulu ge gamu n’ekikuweeredwa


(i) Omulenganjuba
(ii) yegu (Obubonero 4)

2
@2022 Jinja Joint Examinations Board Bikkula
EKITUNDU B
Ddamu ebibuuzo bisatu (3) mu kitundu kino. Kola 2, 3 ne 4 ng’ogoberera
ebikuweereddwa.

Kola 2(a) oba 2(b)


2. (a) Nyonnyola ku mizizo egyayambanga abaganda okwetangira obulabe obutali bumu
okubatuukako. (Obubonero 20)

Oba
(b) (i) Laga obulombolombo obutali bumu ebika by’abaganda kwe bitambulira.
(Obubonero 20)

Kola 3(a) ne 3(b)


3. (a) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bisatu (3) onnyonnyole amakulu gaabyo
agoomunda.
(i) Okwerya enkuta zemimwa.
(ii) Omuntu okwetika enju.
(iii) Okulya ebitali bilamule.
(iv) Okukekeza enyago.
(v) Okulengezza omuntu (Obubonero 06)
(b) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bibiri (2) obikozese mu sentensi eziggyayo
obulungi amakulu gaabyo.
(i) Okusenya ku mmere.
(ii) Okwambalira omuntu.
(iii) Okumalira amatu wansi (Obubonero 04)

Kola 4(a) ne 4(b).


4. (a) Maliriza engero bbiri (2) kuzikuweereddwa nga bwezoogerwa.
(i) ……………………….ne bw’oggalwo enyingira.
(ii) Akafa omukkuto ……………………………
(iii) Mwami alidda ddi …………………………… Obubonero 04)

(b) Ku ngero ezikuwereddwa londako ssatu (3) owe kye ziyigiriza.


(i) Wakka awunya nga ggwe omulumbye mu nswa ze.
(ii) Ke weerimidde kakira mbegerako.
(iv) Tebakikola nze nentuula, akuttira bufumbo.
(v) Nanyini mufu yakwata awawunya. (Obubonero 06)

EKITUNDU C
Ddamu ekibuuzo kimu (1) okuva mu kitundu kino ng’okiggya mu nnamba 5, 6 oba 7.

3
@2022 Jinja Joint Examinations Board Bikkula
Kola 5(a) oba 5(b)
5. (a) Nnyonnyola engeri okubawo kwa Busuulwa mu kisaawe ky’ebyenjigiriza gye
kuganyuddemu eggwanga. (Obubonero 20)
Oba
(b) Nyonnyola ku bintu ebyenjawulo omuntu byazuula ku busuulwa ng’omuntu
oluvanyuma lw’okusoma ebiwandiiko bye. (Obubonero 20)

Kola 6(a) oba 6(b)


6. (a) Kaawo akoleredde atya olulimi oluganda okusobola okulukulankulanya?
(Obubonero 20)
Oba
(b) Kaswa atunyumiza atya ku butiko ku embaalo mu kimu ku bitabo bye?
(Obubonero 20)

Kola 7(a) oba 7(b)


7. (a) “Emiti emito gye giggumiza ekibira” Nyonnyola engeri Matovu gy’atalekeredde
bato abookuzimba Buganda ey’enkya. (Obubonero 20)

Oba
(b) Obuweereza bwa Matovu buyamba butya abantu ab’enjawulo okwekulaakulanya?
(Obubonero 20)

BIKOMYE WANO

4
@2022 Jinja Joint Examinations Board Bikkula

You might also like