Namayingo (disitulikit)
Namayingo District | |
---|---|
District | |
District location in Uganda | |
Country | Uganda |
Region | Eastern Uganda |
Sub-region | Busoga sub-region |
Capital | Namayingo |
Obugazi | |
• Land | 532.9 km2 (205.8 sq mi) |
Elevation | 1,200 m (3,900 ft) |
Abantu (2012 Estimate) | |
• Total | 232,300 |
• Ekibangirizi n'abantu | 435.9/km2 (1,129/sq mi) |
Saawa | EAT (UTC+3) |
Website | www |
Disitulikiti ya Namayingo ye disitulikiti eri mu buvanjuba bwa Uganda. Erinnya lyayo lyabbulwa bu kabuga akakulu, Namayingo, era nga weewali n'ekitebe kya disitulikiti.
Wa weesangibwa
[kyusa | edit source]Disitulikiti ya Namayingo esangibwa kumpi neEquator. Esalagana ensalo ne Disitulikiti ya Bugiri mu bukiika kkono bwamaserengeta, Disitulikiti ya Busia mu bukiika kkono bwobuvanjuba, Egwanga lya Kenya mu buvanjuba ne mu bugwanjuba bwobuvanjuba, Eggwanga lya Tanzania mu maserengeta ne Disitulikiti ya Mayuge mu bugwanjuba ne mu bugwanjuba bwamaserengeta. Namayingo, ewali ekitebe kya disitulikiti, walina obuwanvui bulinga mu 95 kilometres (59 mi), ngokozesezza luguudo, obugwanjuba bwobuvanjuba bwa Jinja, ekibuga ekisinga obunene mu Kitundutundu kya Busoga. Kino ekitundu kiri wakati wa 38 kilometres (24 mi), ku luguudo, mu maserengeta ga Bugiri, ekibuga ekinene ekisinga okuba okumpi. Endagiriro mu koodinatisi za disitulikiti eno ziri: 00 17N, 33 51E.
Mu bufunze
[kyusa | edit source]Disitulikiti yateekebwawo etteeka lya paaliyamenti era nga yatandika okukola nga 1, ogwomusanvu, 2010. Ebyo byonna nga tebinnabaawo yali kitundutundu ku Disitulikiti ya Bugiri. Disitulikiti ya Namayingo kitundu ku gutundutundu gwa Busoga. Endala disitulikiti eziri mu Busoga ze zino wammanga:
2. 2. . Disitulikiti y’e Iganga
3. 3. . Disitulikiti y'e Jinja
4. 4. . Disitulikiti y’e Kaliro
5. 5. . Disitulikiti y’e Kamuli
6. 6. . Disitulikiti y'e Luuka
7. 7. . Disitulikiti y'e Mayuge
8. . Disitulikiti y'e Namutumba .
Ng'omwaka 2000 tegunnatuuka, ebintu ebibiri ebyali bisinga okukolebwa mu disitulikiti eno byali (a) obulimi obwokwebeezaawo ku lukalu ne (b) okuvuba okwensimbi ku lubalama ne ku bizinga bya Nnalubaale. Mu kyasa ekya enkumi ebbiri, ebirombe bya zzaabu bizuuliddwa mu disitulikiti eno. Kino kireese abatuuze abapya bangi mu kitundu, nga bakola emirimu nga, abasimi,abayoza,abakummunta, ba bbulooka, abaguzi, okwo nga kwogasse ne abatunzi bebikozesebwa mu kusima zzaabu, okugezanga, ensuuluulu, ebitiiyo,bu ppeyiro, amabaafu,emiguwa namadaala.[1]
Obungi bwabantu
[kyusa | edit source]Okubala abantu mu ggwanga okwakolebwa mu 1991 kwalaga nti omuwendo gw’abantu mu disitulikiti eno gwali nga 68,000. Mu mwaka gwa 2002, okubala abantu okwaddako mu ggwanga kwalaga omuwendo gw’abantu mu disitulikiti eno nga 175,000. Omuwendo gw’omuwendo gw’abantu mu disitulikiti buli mwaka gwabalirirwa ku bitundu 2.9%. Kiteeberezebwa nti abantu mu Disitulikiti y’e Namayingo baali nga 232,300 mu mwaka gwa 2012. [2]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]Obujegere bwemikutu gya wabweru
[kyusa | edit source]