Paulo Muwanga
Template:Infobox OfficeholderPaulo Muwanga (agambibwa okuba nti yazaalibwa mu 1924[1] oba mu 1925[2] – 1 Ogwokuna 1991) yali Munnayuganda era munnabyabufuzi eyaweerezaako nga Pulezidenti wa Uganda newankbadde teyatongozebwa (de facto president), oluvannyuma n'afuuka Ssaabaminisita wa Uganda.
Emirimu gye
kyusaMuwanga yazaalibwa mu Uganda. Yakolako mu kitongole kya East African Posts and Telecommunications Administration (1943–50) bwe yali tannayingira byabufuzi mu 1950.[2] Yali mubaka mu Paalamenti okuva mu 1962 okutuuka mu 1964, nga tannafuuka Abasada wa Uganda e Misiri (Egypt) mu 1964 okutuuka mu 70) n'oluvannyuma Ambasada wa Uganda mu France (1970–72).[2] Yali mu buwang'anguse e Bungereza okuva mu 1972 okutuuka mu 1978, nga tannadda Uganda okulwana mu lutalo olwaUganda–Tanzania War (1978–9).[2] Yaweerezaako nga minisita w'ensonga ez'ebweru okumala akaseera katono ng'atandikira mu Gavumenti ya Yusuf Lule oluvannyuma mu ya Godfrey Binaisa.[2] Binaisa yagezaako okussa Muwanga amadaala bwe yayagala okumuzza ku Bw'abasada wa mu Gwokubiri 1980, naye Muwanga yakiwakanya eri akakiiko ka National Consultative Commission.[3] Ku mulundi ogwaddako yalondebwa nga Minisita w'abakozi mu mwezi gwe gumu n'abeera mu kifo ekyo okutuusa mu Gwokutaano, 1980.[2][3]
Nga 12 Ogwokutaano, 1980, amagye gaggyako Binaisa ne gateekawo olukiiko lwa bannamagye 6 nga lukulirwa Muwanga. Olukiiko olwe lwe lwakola nga Pulezidenti wa Uganda okumala ennaku entonotono okutuusa bwe waateekebwawo olukiiko olulala olutongole olwa Presidential Commission of Uganda. Olukiiko olwo olwali lukulemberwa Muwanga nga Ssentebe waalwo lwalina obuyinza bwa Pulezidenti wa Uganda wakati wa 22 Ogwokutaano okutuuka nga 15 Ogwekkumineebiri 1980.
Oluvannyuma lw'okulonda okwaliwo mu Gwekkumineebiri nga 10,1980, Muwanga yeeteekawo ng'akulira akakiiko k'ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission era n'alangirira Milton Obote owa Uganda People's Congress ng'omuwanguzi. Ebyava mu kulonda byawakanyizibwa era bye byavaako Yoweri Museveni okugenda mu nsiko okuwakanya obufuzi bwa Obote.
Wakati wa 1980 ne 1985, ye yali Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda era nga Minisita w'obutebenkevu mu Gavumenti ya Obote. Okumala akaseera akatono, yali Ssaabaminisita wa Uganda (mu Gwomusanvu[2] oba ova nga 1 Ogwomunaana – 25 Ogwomunaana 1985) wansi wa Pulezidenti Tito Okello,[2] nga tannasikizibwa Abraham Waligo.[4]
Yakwatibwa mu Gwekkumi 1986, n'ayimbulwa mu 1988, ate n'addamu okusibwa mu 1989–90.
Obulamu bwe
kyusaNewankubadde yali mu bufumbo obutongole ne Nalongo Kasalina Zawedde Muwanga, yalinayo abakyala ebbali be yazaalamu abaana.[5][6]
Abamu ku bantu ba Muwanga abatutumufu mu kiseera kino mwe Muzzukulu we Omuzannyi wa Firimu, omuwandiisi era dayirekita e Bungereza Zawe Ashton.[7]
Ebijuliziddwamu
kyusaTemplate:S-start Template:S-off Template:Succession box Template:Succession box Template:S-end
Laba ne bino
kyusa- Uganda since 1979, part of the History of Uganda series.
- Pulezidenti wa Uganda
- Ebyobufuzi bya Uganda
- Ebibiina by'ebyobufuzi mu Uganda
- ↑ https://www.nytimes.com/1991/04/02/obituaries/paulo-muwanga-70-ex-ugandan-official.html
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 2.7 Uwechue, Raph, ed. (1996). Africa who's who (3rd ed.). Africa Books. p. 979. ISBN 090327423X. OCLC 36727692.Uwechue, Raph, ed. (1996). Africa who's who (3rd ed.). Africa Books. p. 979. ISBN 090327423X. OCLC 36727692.
- ↑ 3.0 3.1 Jørgensen, Jan Jelmert (1981). Uganda: a modern history. Taylor & Francis. pp. 335–339. ISBN 978-0-85664-643-0.
- ↑ https://www.nytimes.com/1985/08/26/world/uganda-removes-prime-minister.html
- ↑ "Museveni visits family of ex-president Paulo Muwanga". Archived from the original on 2021-01-13. Retrieved 2021-08-07.
- ↑ https://www.latimes.com/archives/la-xpm-1985-08-01-mn-4236-story.html
- ↑ https://www.theguardian.com/culture/2016/jan/16/zawe-ashton-always-play-extreme-characters-fresh-meat